Amawulire

Abóludda oluvuganya bawadde Gavt ennaku 30 etegeke okulonda kwa Bassentebe

Abóludda oluvuganya bawadde Gavt ennaku 30 etegeke okulonda kwa Bassentebe

Ivan Ssenabulya

July 12th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakulembeze bóludda oluwabula gavumenti mu palamenti, bawadde gavumenti ennaku 30 ngéfunye ensimbi ezókutegeka okulonda kwa bassentebe bébyalo nóbukiiko bwa bakyala.

Kino kiddiridde ekisanja kya bassentebe ba LC1 ne 11 okuggwaako nga 10th July.

Akakiiko k’ebyokulonda kaalemereddwa okutegeka okulonda omwezi guno olw’ebbula ly’ensimbi.

Kaali kaasaba obuwumbi 90 okutegeka okulonda kuno kyokka minisitule y’ebyensimbi yabawa obuwumbi 36 zokka.

Mukwogerako ne bannamawulire ku palamenti enkya ya leero, kabineti y’ekisiikirize ng’ekulembeddwamu minisita w’ekisiikirize owa gavumenti ez’ebitundu eranga ye omubaka omukyala ow’omu disitulikiti y’e Wakiso, Ethel Naluyima agambye nti ba ssentebe b’ebyalo bakola kinene nnyo mu bantu n’olwekyo ofiisi zaabwe teziyinza kumala bbanga ddene nga njereere.

Agaseeko nti obutabaawo bwabwe kigenda kukosa ebyokwerinda bye bitundu era kigenda kusannyalaza n’emirimu mingi egy’ebyenfuna naddala mu by’amayumba ng’okutunda ettaka kyetaagisa sitampu ya LC1.

Ate ye minisita owekisikirize owe byenjigiriza era nga ye mubaka omukyala owa Luwero, Brenda Nabukenya, atiisatiisiza okukunga bannauganda beekalakaasa nga bawakanya ekya gavumenti okulemererwa okutegeka okulonda kuno.