Amawulire

Abóludda oluvuganya bakusalawo kubya babaka

Abóludda oluvuganya bakusalawo kubya babaka

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abóludda oluvuganya mu palamenti bakutuula mu kavubo basalewo oba bagenda mu maaso nokusalawo kwabwe okwasooka okwobutaddamu mu sseteserezo ku byekuusa ku babaka banabwe abakwatibwa.

Ku lwokubiri lwa ssabiiti ewedde ababaka abali ku ludda oluvuganya nga bakulembedwamu omukulembeze, Mathius Mpuuga, bekandaga ne bafuluma palamenti nga bawakanya engeri banabwe okuli omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya nowa Makindye West Allan Ssewanyana gyebakwatibwamu nga kkooti emaze okubayimbula okuva mu kkomera

Bano bawera nti sibakudamu kutuula mu sseteserezo okutuusa nga banabwe baleetebwa mu kkoti oba okuyimbulwa.

Akulira ababaka abagira ku kaada ya DP mu palamenti Peter Okot, abtegezeza bannamawulire nti akulira oludda oluvuganya mu plamenti abayise munsisinkano olunaku olwenkya balabe ekidako.

Mu bayitibwa kuliko bannampala bebibiina ne baminisita mu gavt eyekisikirize.

Wabula ategezeza nti okwekandaga kwebakola bakufunyemu ebibabala kuba kati bamanyi banabwe gyebali era nga ne bannamateeka babwe bakkirizibwa okubalaba.