Amawulire

Abóbuyinza e Kyotera beralikiridde olwábaana abafumbizibwa nga bato

Abóbuyinza e Kyotera beralikiridde olwábaana abafumbizibwa nga bato

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2022

No comments

Bya Malik Fahad,

Ab’obuyinza mu disitulikiti y’e Kyotera beralikirivu olwomuwendo gw’abaana abatanneetuuka abeeyongera okusindikibwa mufumbo bazadde baabwe.

Kino wekijjidde nga gavumenti mu ssabiiti ewedde yataasa omwana ow’obuwala wiiki ewedde eyakwatibwa mu katambi ng’awambibwa abasajja kubigambibwa nti baali bamukaka okufumbirwa

Kigambibwa nti abooluganda lw’omwana omwana ono baali baagala okweyambisa omukisa gw’okufa kwa kitaawe okumufumbiza.

Akulira enkulaakulana y’abantu mu disitulikiti eno Prossy Namuwawu agamba nti, abaana abawala ebitundu 30% basindikibwa mu bufumbo nga bukyali buli mwaka mu disitulikiti y’e Kyotera naddala mu magombolola okuli Kabira, Kakuuto ne Kasasa.

Okusinziira ku Namuwawu, bangi ku bazadde bekobaana n’abasajja ne batunda bawala baabwe.

Apollo Baguma, RDC wa Kyotera alajanidde abatuuze e Kyotera okukomya omuzze guno