Amawulire

Abóbuyinza e Jinja batabukidde abaana bókunguudo

Abóbuyinza e Jinja batabukidde abaana bókunguudo

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ab’obuyinza mu kibuga Jinja basazeewo okukwata abaana b’oku nguudo bonna nga kigambibwa nti bafuuse ba bulabe ku by’okwerinda.

Omuwandiisi w’ekibuga Jinja Edward Lwanga ategeezezza nti bino byatuukiddwaako mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwetabiddwamu poliisi.

Lwanga agamba nti abaana b’oku nguudo balumba abatuuze n’ebintu ebyobulabe ate abalala ne babuuka mu bikomera okubba ebintu mu kiro.

Anyonyodde  nti ekikwekweto eky’awamu wakati wa ttiimu y’okukwasisa amateeka mu kanso ne poliisi kigenda mu maaso okuyonja ekibuga kino abakola ebikyamu bano abatiisa abatuuze bakwatibwe.

Alajaanidde abazadde n’abooluganda abalina abaana ababuze nga bateeberezebwa okuba ku nguudo e Jinja okubakung’aanya ng’ekikwekweto tekinnatandika.