Amawulire

Abóbuyinza beeralikiridde olwa baana abakonziba olwéndya embi e Kabongo

Abóbuyinza beeralikiridde olwa baana abakonziba olwéndya embi e Kabongo

Ivan Ssenabulya

May 28th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Omuwendo gwa abaana abali wansi wemyaka 5 abakonziba olwendya embi gwelalikiriza abóbuyinza mu disitulikiti yé Kabongo.

Okusinzira ku ssentebe wa distulikiti eno, Mary Gimo ku baana batono mu disitulikiti eno osangako 2 nga baakonziba olwendya embi.

Kino akitadde ku mbeera eyobubbi bwente eri mu kitundu ne kyeeya ekivirideko abaana obutafuna bya kulya bimala.

Ono agambye nti mu kiseera kino abaana tebakyasobola kulya bulungi nasaba gavt nábagabi bobuyambi okubaddukirira.