Amawulire

Abóbuyinza bakubiriza bannansi okwetanira okwegemesa ngéddagala terinagwako

Abóbuyinza bakubiriza bannansi okwetanira okwegemesa ngéddagala terinagwako

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2021

No comments

Bya musasi waffe,

Ekibuga kye Jinja kibuyaana olweddagala erigema ekirwadde kya Covid-19 okubakendeerako ngesigadde ennaku mbale eddagala eriweza doozi 67,000 ligweko.

Kino kivudde ku bakulembeze okulemera ku batuuze bagenda bagemebwe.

Era amyuka omubaka wa gavt e Jinja Peter Banya ayongedde okwegayirira abatuuze okugenda okubagema asobole okusigaza akalimuke

ono okulajana bwati kidiridde omukulembeze weggwanga Museveni, okulabula nga bwagenda okugoba ba abakulu ba zi-disitulikiti abalemeredwa okukunga abantu babwe okugemebwa kyokka nga eddagala ligenda kugwako terikozeseddwa

kati mu kwogerako ne radio eno Banya agambye nti olwomuwendo omungi ogwa bantu eddagala basigaza tono nga nokusinga abasomesa ababadde batanafuna doozi esooka bebasinga okulyetaaga.