Amawulire

Abiriga bamukubye amasasi agamusse

Ivan Ssenabulya

June 8th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa munispaali ye Arau mu palamenti Ibrahim Abiriga akubiddwa amasasi agamutiddewo.

Abatamanya ngamba ono bamulumbye nebamutta nomukuumi we nomuntu omulala owokusattu, bwebabadde mu mmotoka.

Ettemu lino libadde Kawanda/ Matugga okulinaana namaka ge.

Kati akulira ebyamauwlire, mu palamenti Chris Obore akakasizza okuttibwa kwa Abiriga.

Ono atusizza obubaka bwomukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga, obukungubaga.

Ono atubuliidde nti omubaka abadde ava mu palamenti gasembye okulabikako olwaleero.

Kati Obore agambye nti bakukwatagana nebenganda okukola ku ntekateeka zokuziika.

Yye omwogezi wakabondo kabaka ba NRM Margret Muhanga akungubagidde okufa kwa Abiriga.

Omugenzi amogeddeko ngabadde ayagala ekibiina kye.