Amawulire

Ab’eTeso bawakanyizza olukalala lwabegenda okuliyirirwa

Ab’eTeso bawakanyizza olukalala lwabegenda okuliyirirwa

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Munnamateeka wabantu abakosebw aolutalo mu bitundu bye Teso awandikidde gavumenti, omukuku gwebbaluwa ngawkanya olukalala lwabantu olwafulumye, abagambibwa nti bebakosebwa.

Bano bagamba nti kwabadde kukontana ne kooti ekiragiro kyeyayisa nga 17 Sebutemba 2021 nga yalagira nti waberewo okwkennenya olukalala lwabantu emitwalo 3 mu 3,664 abakosebwa olutalo mu kitundu kino era batandike okubaliyirrira mu Okitobba.

Richard Anguria Omongole, okuva mu bannamateeka ba Omongole & Co. Advocates mu bbaluwa gyeyawandiise nga 22 Sebutemba eri amyuka Sipiika wa palamenti ne Ssabawolerereza wa gavumenti yagambye nti olukalala olwafulumye mujuddemu abantu abempewo atenga abantu abatuufu abakosebwa baalekeddwa ebali.

Agambye nti baliko olukiiko lwebetabamu mu kusooka nga lwetabwamu abakulu okuva mu wofiisi ya Sipiika nabaava mu wofiisi ya Ssabawolererza wa gavumenti, nebakaanya ku bantu abatuufu abatekeddwa okuliyiririrwa.

Kinajjukirwa nga 17 Sebutemba, omulamuzi Henry Peter Adonyo, owe Soroti yeyayisa ekiragiro eri gavumenti okwetegereze olukalala.

Julius Ochen, nga ye ssentebbe owa Teso war claimants, eyali omubaka we Kapelebyong ategezezza banaffe aba Daily Monitor nti ssi bamativu wlwnegeri gavumenti gyedibazeemu entekateeka eno neremera ku nkalala okuli abantu abempewo.

Wabula Ssabawolerereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka, bweyatukiriddwa yagambye nti tanabandaala mu wofiisi, kubanga mupya ensonga ezimu tnazitegeera bulungi.