Amawulire
Ab’essiga eddamuzi betonze
Bya Benjamin Jumbe
Abessiga eddamuzi betonze, olwobutakanya obwabaluseewo mu kooti ensukulumu olunnaku lwe ggulo, era basubizza nti bagenda kubugonjoola.
Katemba yeyolese mu kooti eno, omulamuzi Esther Kisakye bweyalumirizza Ssabalamuzi we gwanga Alifonse Owinyi Dollo okuwamba ennamula ye eyabadde eyawukana ku yaabwe.
Bino byabadde mu musango gwakulembera ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi kooti bweyabadde eramnula lwaki yamukiriza okugujjayo.
Kati bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wessiga eddamuzi Solomon Mwita akakizza ebyabaddewo, neyetonda abula nagamba nti ssi gwemulundi ogwasoose ngamba nti kitera okuberawo.