Amawulire

Ab’essiga eddamuzi begaanye okusisinkana Museveni

Ab’essiga eddamuzi begaanye okusisinkana Museveni

Ivan Ssenabulya

February 21st, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abessiga eddamuzi beganye byebayis obulimba, ebibogerwako nti Ssabalamuzi we gwanga Alfonso Owinny Dollo, ne banne basisinkana omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni mu maka gobwa pulezidenti Entebbe, mu biseera byebimu ebyomusango gwa Robert Kyagulanyi oguwakanya okulondebwa kwa Museveni.

Amawulire ku mutimbagano gaze gasasana, nga galaga nti ensisisnkano eyekyama yaliwo, songa nabasirikale absomola ebifanayi bya Dollo ngali mu State House kigambibwa nti, babakutte.

Kati akulira ebyamulire mu ssiga eddamuzi Jamson Karemani,   mu kiwandiiko kyafulumizza agambye nti buno bulimba, era ababissanya bandiba nebiganedererwa ebyabwe wabula ebitali birungi.

Wabula agambye nti ensisinkano gyebalimu, ngabakulembeze be ssiga eddamuzi yali ekwata ku mirimu emitongole, nga yaliwo nga 10 February okwali okulayiza omulamuzi Margaret Apiny, eyalondebwa okutuula mu kooti enkulu era ku mukolo gwegumu, Ssabalamuzi yayanjula embaliririra yaabwe ri omukulembeze we gwanga.

Omukolo omulala, gweyabaddeko gwegwokujjukira eyali Ssabalabiriz we kanisa ya Uganda Janan Luwumu, ogwabaddewo wiiki ewedde nga 16 February.

Bino webijidde nga kooti ensukulumu, yataddewo olwanga 23 February okuwuliriza omusango gwa munnamateeka Male Mabirizi ayagala Ssabalamuzi ave mu musango gwa Kyagulanyi ngamulumiriza obwa kyekubiira.

Mabirizi agamba nti enkolagana ya Dollo ne Museveni yamunda nnyo, kubanga yamuwolereza nemu musango gwa Besigye ogwa 2006, ogwawaabwa Besigye era ogwali guwakanya obuwnaguzi bwa Museveni.