Amawulire
Ab’enzikiriza y’obumu bafunye omusika
Bya Magembe Sabiiti
Libadde ssanyu ng’ebenzikiriza ey’obumu oba Unity of Faith eyatandikibwawo Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka balangirira, omukulembeze waabwe omugya.
Akulira enzikiriza eno omuggya kati ye Omukwenda Akugizibwe Bisaka, ngomukolo gubadde mu Bukwenda bwe Kisozi mu Kampala.
Omukwenda Akugizibwe Bisaka mutabani w’omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka, ngawereddwa n’obuvunanyizibwa okukulembera abaana b’omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka n’okukuuma eby’obugagga bya kitaawe saako okwanaganya enzikiriza eno ne gavumenti eyawakati.
Omukwenda Akuguzibwe Bisaka bwabadde ayogerako eri abakiriza, abasabye obuteralikirira kubanga Ruhanga Owobusobozi Bisaka agenda kusigala nabo mu mwoyo n’okumulungamya ngakol emirimu gye.
Ono asiimye abakwenda nabawereza olw’omulimu gwebakola ogw’okusomesa abakiriza obulungi bw’enzikiriza eno.