Amawulire

Ab’eMubende ekuba ebalese basula ku ttaka

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2021

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Abatuuze ku byalo 5 mu gombolola ye Kibalinga mu disitulikiti ye Mubende basobeddwa olw’enkuba namutikwa eyasanyizaawo amayumba gaabwe, ensuku nebirime ebirala.

Kati bano tebalina wakutandikira, nga nabamu batandise kusula wabweru.

Enkuba eno yakosezza ebyalo okuli Kisalaba, Nganji Nkandwa, Kabirizi ne Kyebumba ng’eno amayumba agawerako nebirime enkuba yabirese ku ttaka.

Abamu ku bakoseddwa okuli Gloriyasi Ninshaba owabaana 7 batubulidde ngenkuba bweyasanyizaawo amayumba gaabwe.

Ssentebe we gombolola ye Kibalinga omulonde, Tumukiza Aron agambye nti abantu bafiriddwa ebintu bingi, era alajanidde abakulembeze okudduka zamabwa okubayamba.