Amawulire

Ab’eKisoro balajanidde gavumenti ebayambeko ku babundabunda

Ab’eKisoro balajanidde gavumenti ebayambeko ku babundabunda

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Abanoonyi bobubudamu abali mu 7000 bebakasala ensalo okuva mu Democratic Republic ya Congo okwesogga Uganda okuyita ku nsalo ye Bunagana.

Okusinziira ku lukiiko oluvunayizibwa ku mirimu gyebibamba nebigwa tebiraze mu disitulikiti ye Kisoro abantu badduka, betegula okulwanagana okwazeemu wakati wamagye ga gavumenti nabayekera aba M23.

Okulwanagana kuno kwatandise mu kiro ekyakeesa olunnaku lwa Bbalaza.

Kati abasinga, bababudamizza mu katale ke Bunagana nabalala ku ssomero lya Bunagana P/S nga nabamu basula wabweru.

Akulira emirimu ku disitulikiti ye Kisoro Manasseh Rukundo akakasizza nti batubidde n’omuwendo gwabantu omungi ku nsalo, kati okumala ennaku bbiri naye tebanafuna buyambi.akubidde gavumenti omulanga nabagabi bobuyambi nti betaaga okuyambibwako okutuusa emmere eri abantu bano, aw’okusula nebikozesebwa ebiralala.CAO agambye nti betaaga n’emmotoka okubatambuza okubatwala mu nkambi ye Nyakabande okubekebejja ssenyiga omukambwe, Ebola n’okubetegereza mu byokwerinda.