Amawulire

Abékisinde kya PFT benyamivu aba NUP obutabeegatako

Abékisinde kya PFT benyamivu aba NUP obutabeegatako

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekisinde kya People’s Front for Transition (PFT) kyenyamivu olwe kibiina kye byo’bufuzi ekya National Unity Platform okugaana okubegattako.

Mu kwogerako ne bannamwulire mu kampala, ssentebe wékisinde kino, Dr Kiiza Besigye, agambye nti ekyatandikisizaawo omukago guno kwekugonjoola embeera eyakatyabaga mu byobufuzi bya Uganda eriwo mu kaseera kano nanye nga kyannaku nti abamu kubalwaniririzi benkyukakyuka tebayaniriza kisinde kino.

Ono atubuulidde nti azenga ayogerezeganya nábakulembe ba NUP nga nókulonda tekunabaawo n’oluvanyuma nga kuwedde nebaniriza endowooza yókwegatta awamu wabula ate oluvanyuma balaze nti tebabiriiiko.

Besigye agambye nti bamala ne bamuteegeeza nga bwebeetaagayo obudde, emyezi nga 8 basooke betereeze munda mu kibiina.

Wabula asabye abali ku ludda oluvuganya abatanabegatako okukikola basobole okulwanyisa obutali bwenkanya obuli mu gwangane kigendererwa ekyokulaba nti bannanasi banunulibwa okuva mu buwambe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *