Amawulire

Ab’eKiboga bazudde omulambo ku kkubo

Ab’eKiboga bazudde omulambo ku kkubo

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2022

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Poliis mu disitulikiti y’eKiboga ebakanye n’okunonyereza ku muntu atanamanyika bimukwatako, agambibwa okuba nga yatemuddwa.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Rachel Kawala, omulambo gweomusajja ono gwasangidwa ku mabali g’ekubbo ku kyalo Lunya mu tawuni kanso ye Lwamata e Kiboga.

Gwalabiddwa ku luguudo oluva e Hoima okuda e Kampala, nga Kawala agambye nti kiteberezebwa okuba nti omuntu ono yaletedwa n’asulibwawo wano, kubanga mu kitundu ekyo tamanyikiddwa.