Amawulire

Abegwanyisa ekifo kya Omoro mu palamenti basabiddwa okukima empapula eri EC

Abegwanyisa ekifo kya Omoro mu palamenti basabiddwa okukima empapula eri EC

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akakiiko ke byokulonda kayise bonna abegwanyisa okutwala ekifo kya Omoro County okukima empapula.

Akakiiko katekawo ennaku zomwezi nga 26th May 2022 ngolunaku olwokulonderako omubaka wa palamenti omugya, okusunsula abesibyewo ku disitulikiti kutandika nga 12th – 13th May 2022 ku kitebe kya disitulikiti.

Mu kwogerako ne Dembe FM amwogezi wa kakiiko ke byokulonda, Paul Bukenya agambye nti abegwanyiza ekifo empapula bakuzinona kuyafeesi y’akulira ebyokulonda ku disitulikiti

Abanaba tebasobodde kugenda kugenda mu Omoro okukima empapula basobola okugenda ku kitebe ekikulu ekya kakiiko kano wano mu kampala.

Ekifo kya Omoro County mu palamenti kyasigala nga kikalu oluvanyuma lwaeyali mu kifo kino  Jacob Oulanyah okufa.