Amawulire

Abeesimbwo ku bwanamunigina baluyiseeko

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

mps in session

Ababaka ba palamenti abeesimbawo ku lwaabwe bafunye ku buwereero.

Kooti ensukulumu eyawukanya ku etaputa ssemateeka ku ky’okugobwa kwa babaka bano oluvanyuma lwokuyingira palamenti ku tikiti y’ebibiina ebirala.

Awatali kwetemamu abalamuzi omusanvu bonna basazeewo nti omutu okususulwa mu kibiina ekirala kimala okulaga nti yava dda mu kibiina kye ekikadde.

Abalamuzi bano era bategezeza nga buli mubaka bwali ow’eddembe okusigala mu palamenti nga talina kibiina.

Mu  February wa 2011 kooti etaputa ssemateeka yalangirira the nti kyali kimemya mateeka omubaka yenna atalina kibiina okwesimbawo ku tikiti y’ekibiina kyonna saako n’owekibiina kyonna okwesimbawo ku lulwe.