Amawulire

Abeekalakaasi 100 e Jinja bakwatibwa

Abeekalakaasi 100 e Jinja bakwatibwa

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu kibuga jinja e kutte abatuuze 100 ku kyalo Mafubira, ng’ebalanga kudda ku nguudo n’ebekalakaasa mbu bawakanya kya beeyi ya bintu eyekanamye mu ggwanga.

bano okwekalakaasa bakutande ku kyalo Namulesa ku lugudo olugatta Jinja-Kamuli mu Jinja north Division.

Abatuuze bazibye enguudo n’okukuma omuliro wakati mu nguudo wabula poliisi ebanguyidde ne bagumbulula.

Bano bakoze efujju ne baasa endabirwamu ye mmotoka ya poliisi, ekiwaliriza poliisi okukozesa eryanyi ne bakwata.

abatuuze bagamba nti tebayinza kukigumikiriza okulaba nga mu mawanga ga East Africa gonna Uganda yesinza amafuta ag’obuseere, nga amafuta agaali ku 4500 litre kati eri ku 6300.