Amawulire

Abéddwaliro lya Kajjansi health center IV balajana tebalina Ggwanika

Abéddwaliro lya Kajjansi health center IV balajana tebalina Ggwanika

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakulira eddwaliro lya Kajjansi health center IV balajana butaba na Ggwanika webatereka emirambo.

Oluvanyuma lwa gavt okubazimbira theatre webalongoseza abantu, era bakyalina ekizibu kyekifo webatereka abantu ababeera bafiridde mu ddwaliro lino nga kati emirambo bagireka kubutando okutuusa bananyini gyo bwebagitwaala.

Okusinziira ku akulira eddwaliro linno Dr Adam Mbayi agambye nti ekifo kyebalina nge ggwanika bakikozesa okuterekelamu ebiwandiiko bye ddwaliro ngate nako kazimbe katono nyo nga kati emirambo bagireka ku bitanda okutuusa bananyini bwe bagutwaala.

Ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika alazze okutya olw’eddwaliro eddene ngalino obutabeera na ggwanika ngate balitadeko ebintu ebyebeeyi bingi.