Amawulire

Abebyokwerinda basambazze ebya gavumenti okukuba abantu baayo

Abebyokwerinda basambazze ebya gavumenti okukuba abantu baayo

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi esambazze byebayise pokopoko atambula eno neeri, ngabamu balumiriza nti gavumenti yandibeera nekyemanyi ku bbomu ezikubwa mu kibuga.

Bino byabadde mu kuwayaamu nabantu babulijjo, ku mitimbagano kyebatumye government citizen interaction on ‘securing your environment amid terror threats’.

Abamu ku betabye mu nisisinkano eno bagambye nti mu kino gavumenti yandibeera nekirubirirwa kyayo ekirala.

Kati mu kwanukula, amyuka omwogezo wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire agambye nti tekisoboka kubanga teri gavumeni esobola kutuusa bulabe ku bantu baayo.

Asabye abantu babulijjo okwewala obulimba nga buno obutambula

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *