Amawulire

Abébyóbulamu bawabudde bannauganda okugenda okwekebeza obulwadde bwa TB

Abébyóbulamu bawabudde bannauganda okugenda okwekebeza obulwadde bwa TB

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakugu mu by’obulamu balabudde abantu bulijjo okugenda okwekebeza akafuba (TB) kisobozese okukkakkanya omuwendo gw’abalwadde ogweyongera buli lukya mu ggwanga.

Alipoota y’ensi yonna eya WHO eyomwaka 2017 ku bulwadde bwa TB yalaga nti omuwendo gwa Bannayuganda abawangaala n’akafuba gweyongera ebitundu 60%.

Alipoota yaraga nti abantu 253 ku buli bantu 100,000 mu 2017 baalina akafuba bw’ogeraageranya ne 159 ku buli bantu 100,000 mu 2015.

Okusinziira kwamyuka kamisona owebyobulamu ku ndwadde ya kafuba ne bigenge, okuva mu minisitule y’ebyobulamu, Dr Stavia, Turyahabwa, TB y’emu ku ndwadde ekkumi ezisinga okutta abantu mu nsi yonna.

Songa Bannayuganda abasoba mu 20 buli lunaku bebafa endwadde eno yadde nga esobola okujjanjabibwa ku bwereere.

Agamba nti Bannayuganda balina okufaayo ku bubonero obulaga endwadde yakafuba bwebabulaba naddukirewo mu ddwaliro.

Wiiki eno minisitule y’ebyobulamu ng’eri wamu n’ebannakyewa baatongozza kampeyini y’okumanyisa abantu kundwadde y’akafuba okwetoloola eggwanga egenda okumala omwezi gumu.