Amawulire

Abébyóbulamu bali bulindaala ku bulwadde bwa Monkey Pox

Abébyóbulamu bali bulindaala ku bulwadde bwa Monkey Pox

Ivan Ssenabulya

July 26th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Minisitule y’ebyobulamu egamba nti ekola ku kyakunyweza obwerinde ku bitundu ebyokunsalo oluvanyuma lwekibiina kye byobulamu ekyensi okulangirira nti obulwadde bwa Monkeypox bufuuse ekyokweralikirirako mu nsi yonna.

Dayirekita avunaanyizibwa ku bujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Charles Olaro, agamba nti eggwanga lyetegese era lizimba obusobozi bw’okukebera abantu mu bifo byonna we bayingira eggwanga.

Agamba nti mu kiseera kino essira balitadde ku nsalo y’e Bunagana mu maserengeta ga Uganda ng’ebikumi n’ebikumi by’ababundabunda aba Congo abadduka entalo mu ggwanga lyabwe basomoka okuyingira Uganda buli lunaku.

Wiiki ewedde ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kyalangirira obulwadde bwa Monkeypox ngobulwadde obufuuse ekirara era nga amawanga galina okutandika okwelalikirira nga bwebasala entotto ezokubuvunuka.

Abantu abasoba mu 16,000 be bakwatibwa Obulwadde buno okuva mu mawanga 75.