Amawulire

Abébyóbulamu balabudde nti ekirwadde kya covid kikyali kyabulabe

Abébyóbulamu balabudde nti ekirwadde kya covid kikyali kyabulabe

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2022

No comments

Bya Samuel Ssebuliba,

E kitongole ky’amawanga amagatte ekikola ku byobulamu ki World Health Organisation kirabudde nga ekirwasse kya ssenyiga omukambwe bwekikyali ekyobulabe era nga kikyakosa ebyobulamu munsi yonna.

Akulira ekitongole kinoAddressing Tedros Adhanom agambye nti omutawaana gwa Covid-19 gugasse akazito ku  byobulamu ebiri mu kabiga, kale nga kino kiviiriddeko nabafa okweyngera.

Ono alabudde nti ejjengo eppya elya ssenyiga Corono erigenda mu maaso lyanditegeeza nti ssenyiga ono tanatuusa kugenda,kale nga amawanga galina okusigala obulindaala

Abantu 168,000 bebakakwatibwa ssenyiga corona bukyanga abalukawo, 3,600  bebaakafa, songa 100,000 bbo baawona