Amawulire

Abébyóbulamu bakukolagana nábazadde ku byókugema abaana

Abébyóbulamu bakukolagana nábazadde ku byókugema abaana

Ivan Ssenabulya

June 11th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Minisitule evunanyizibwa ku byóbulamu mu ggwanga ewakanyiza ebigambibwa nti yakugema abaana be ggwanga ku buwaze okuva eri ekirwadde kya covid-19 mu masomero.

Amyuka kamisona avunanyizbwa ku byókugema, Dr Alfred Driwale, yategeeza mu ssabiiti eno nti minisitule yakugema abaana wakati wemyaka 5-17 okuva eri ekirwadde kya covid-19

Ono yabadde agambye nti bakugema abaana bano awatali kufuna lukusa okuva eri abazadde okwewala ekirwade kya covid-19 okuyisa Uganda obubi nga bwegwali emyaka 2 egiyise.

Wabula mu kwogerako ne Dembe FM, omwogezi wa minisitule eye byobulamu, Emmanuel Ainebyona agambye nti gavumenti ekyatekateeka okulaba kino bwe kinatambula wabula nga abazadde bakwebuzibwako