Amawulire

Abébyenjigiriza bakulwanyisa ebirowoozo ebingi mu bayizi

Abébyenjigiriza bakulwanyisa ebirowoozo ebingi mu bayizi

Ivan Ssenabulya

November 15th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisitule eby’enjigiriza ng’ekolaganira wamu ne Government ya Norway, balina enteekateeka eteekawo enkola egenda okulwanyisa ebilowoozo mu baana b’amasomero okwetoloola eggwanga.

Kiddiridde omuwendo abaana b’amasomero abafa nga betuga okweyongera okwetoloola eggwanga lyonna.

Bw’abadde atongoza enkola eno mu Kampala, Christian De Luca okuva mu Norwegian Council agamba nti wansi w’enteekateeka eno gyebatuumye better learning; yakuyamba abayizi okuvuunuka okusomooza kwebayitamu nebilowoozo ebiviiriddeko abaana bangi ensangi zino okwetta.

Government ya Norway eyagala essira kuliteeka mu bitundu omuli abantu ababunda bunda wabula ate yo Ministry y’eby’enjigiriza eyagala enteekateeka eno ebunyisibwe mu masomero wonna okwetoloola eggwanga.

Commissioner akola ku bwetaavu obw’enjawulo mu Ministry y’eby’enjigiriza Sarah Bugosi agamba nti ebituuse ku bayizi mu myaka 3 egiyise omubadde Covid19 kati n’e Ebola, abaana bano tebibalese kyekimu nga wetaagisawo ekikolebwa.