Amawulire

Abe’bizimbe mu Centinery Paaka Bavude mu Mbeera

Ivan Ssenabulya

June 5th, 2017

No comments

Banannyini bizimbe wano ku Centenary Park bavudde mu mbeera amakya ga aleero olwebizimbe byabwe ebigenda mu maaso okusanyizibwawo.

Kino kidiridde abakozi bekitongole kyebyenguudo nabekitongole kyamazzi ekya okulumba ekibangirizi kino, nebatandika okukoonakoona ebizimbe okuyisaamu emiumu gyanmazzi.

Kati akulira Nalongo Estates Sarah Kizito Nyakaana, ngali wamu nabamu ku bakiise mu lukiiko lwekibuga, ategezezza nti baali bakanya nekitongole kya KCCA, okuyisa emidumu gino awalala wabula kibabuseeko ate banookutandika okwonoona ebintu byabwe.

Mukyala Nyakaana agamba nabo bamaliridde okwerwanako.