Amawulire

Ab’ebijambiya batuuse e Nansana

Ab’ebijambiya batuuse e Nansana

Ivan Ssenabulya

September 5th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Famile esimattuse abebijambiya, bwebakubye enduulu abasekeddekezi nebabinyika mu nsuwa.

Bino bibadde mu munispaali ye Nansana mu disitulikiti ye Wakiso, ngabebyokwerinda basobodde okutukira mu budde okuddukirira enduulu.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesisgyire agabye nti baafunye amwulire agakwata ku bulumbaganyi okuva ku omu ku bakulembeze mu Nabweru North.

Amaka agalumbiddwa gabadde ga Paul Kayemba Sempijja omutuuze ku kyalo Kibwa.

Ku kizimbe kino kitegezeddwa nti kuliko camera enkessi, era basobodde okulaba ebibadde bigenda mu maaso nebakuba enduulu nokuyita abebyokwerinda.