Amawulire

Abebibaluwa bongedde okusattiza abakulembeze e Mukono

Abebibaluwa bongedde okusattiza abakulembeze e Mukono

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa gavumenti e Mukono Fatumah Nabitaka Ndisaba addukidde eri olukiiko olukulembera nti basalira amagezi kungeri yokunywezaamu ebyokwerinda.

Kino kidiridde ebibaluwa, abantu abatanaba kutegerekeka byebongedde okusuula mu bitundu bya disitulikiti ebyenjawulo, nga biraliika obutemu.

Aagidde nabakulembeze ku mitendera egya wansi okutandikira ku byalo okutuuka ku ggomboloola okutuuza enkiiko zebyokwerinda okutema empenda kungeri gyebagenda okwekumamu.

Ssentebe wa disitulikiti ye Mukono Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa n’omukubiriiza w’olukiiko lwa disitulikiti Betty Nakasi bagambye nti obumenyi bw’amateeka bulina kukwatibwako kitoole.