Amawulire

Abe Masaka balonze Giso kubwa ssentebbe

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2018

No comments

Bya Gertrude Mutyaba ne Ivan Ssenabulya

Akulira eby’okwerinda mu gombolola ya Nyendo-Senyange muyite GISO, mu Municipaali ye Masaka Haji Nuhu Mutebi awangudde obwa sentebe bw’ekyalo.

Haji Mutebi afunye obululu 181 kyokka munne owa DP bwebabadde bavauganya naafuna obululu 11 bwokka.

Mutebi ategeezezza nti newankubadde abantu bagamba nti mukozi wa gavumenti, ye akiwakanya kubanga ekifo baakimuwa kuyambako buyambi.

Wabula sentebe wa district ye Masaka Jude Mbabaali agamba nti yamaze dda okubaga ekiwandiiko ekiyimiriza okulondebwa kwa Mutebi.

Ate abakulembeze bekibiina ky DP e Mukono bagamba nti waliwo okutya olwempalana, ezanadiva amu kulonda kwe byalao okwabaddewow olunnaku lwe ggulo.

Omwogezi wekibiina kya DP Nkangi Julius agamba nti abanatu bakausigala ne kkonda aku mitima.

Eno atubuliidde nti wadde ekibiina kyakoze abanatu bakusigaza enkovu ku mitima.