Amawulire

Abe Makindye bakusisinkana Spiika lwaki yagoba omubaka waabwe Ssewanyana

Ivan Ssenabulya

October 2nd, 2017

No comments

Bya Ndaye Moses

Oluvanyuma lwomukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga, okugoba ababaka ba palamenti abagambibwa nti bebakola effujjo, abatuuze be Makindye bategezezeza nga bwebagala okuwayaamu na speaker yenyini ababuulire kiki kyayagaza omubaka waabwe.

Bano bagamba nti tebanamanya speaker lwaki alinga awalana omubaka waabwe Allan Ssewanyana.

Bano nga bakulembedwam councilors Muzafalu Kiyemba  bagamba nti omubaka waabwe ono yaabadde abeetikira ebirowoozo byabawe, nga beetaga ababuulire lwaki yamugoba.