Amawulire

Abe Kamokya bazeemu no’mubaka Zaake baamusudde Rubaga

Abe Kamokya bazeemu no’mubaka Zaake baamusudde Rubaga

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye ne Ritah Kemigisa

Poliisi ezeemu okugobagana nabekalakaasi e Kamyokya, ku nkingizzi za Kampala, babanja omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi, Ssentamu ayimbulwe.

Omubaka Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine yakulira mu kitundu kino, okumala obuvubuka bwe bwonna.

Abantu beeno bekalakasizza olunnaku lwe ggulo, wabula poliisi nebagwamu, wabual battukizza nate olwaleero.

Omusasi waffe Damali Mukhaye eno abaddeyo, nabaako kytubuliira.

Omubaka Kyagulanyi avunanibwa kusangibwa na mmundu, wabulanga kigambibwa nti ali mu mbeera mbi.

Omuddumizi wa poliisi mu Kampala North gyebuvuddeko yategezza nti bakusigala, mu kitundu kino okutuusa ngembeera ekakanye.

Ate omubaka wa munispaali ye Mityana Francis Zaake, asangiddwa nga baamusudde ku wankaaki we ddwaliro lye Rubaga.

Okusinziira ku mubaka wa Makindye West, Allan Sewanyana abasawo kati bagezaako okumujanjaba.

Omubaka ono naye yakubibwa era ali mu mbeera mbi, wabula bbo abeddwaliro babadde tebanafunika okutubuliira ku mbeera gyalimu.