Amawulire

Ab’e Butabika bagala obuwumbi 3.5 okuyingiza abasawo abakungu

Ab’e Butabika bagala obuwumbi 3.5 okuyingiza abasawo abakungu

Ivan Ssenabulya

April 4th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eddwaliro elijanjaba abalwadde b’emitwe e Butabika liri ku muyiggo gwa buwumbi bwezakunao 3 n’ekitundu mu mbalirira ey’omwaka gwa 2023/24 liwandiise abakugu abanaliyambako mu bujanjabi.

Abalikulira nga babadde balabiseeko eri kakiiko ka Parliament akakola ku by’obulamu, bategeezezza nga bwebatalina basawo bakugu bamala ate ng’omuwendo gw’abalwadde abatabufu b’emitwe beyongera obungi,

Dr Juliet Naku nga y’alikulira, agamba nti balina abalwadde bali eyo mu 1000 wabula nga ku buli balwadde 200 abasawo qabali ku daala lya Nurse 2 bokka bebakolako.

Bano era baagala n’obuwumbi obulala 5 basobole okumaliriza omulimu gw’okuizmba olukomera okwetoloola eddwaliro lino okumalawo abantu abamala gasaalimbira buli webaagadde n’okwongera okunytweza eby’okwerinda kw’edwaliro n’abalwadde belijanjaba.

Sentebe w’akakiiko ka Parliament akakola ku by’obulamu, Dr. Charles Ayume asuubizza okusaba kw’abano okukutwala eri Ministry ekola ku by’ensimbi.