Amawulire

Ab’e Acholi basabye gavt okunonyereza ku kileeta obulwadde bwa Kinyeenya Mutwe

Ab’e Acholi basabye gavt okunonyereza ku kileeta obulwadde bwa Kinyeenya Mutwe

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakulembeze b’ebyobufuzi okuva mu kitundu kya Acholi basabye gavumenti okukola okunoonyereza okujjuvu ku kivaako obulwadde bw’okinyeenya omutwe obubadde mu kitundu kino okumala emyaka mingi.

Abaasooka okukwatibwa obulwadde buno mu 2003, balowooza nti bulogo ne bagenda mundagu naye tebyakola.

Bbo abakugu mu by’obulamu bagamba nti obulwadde buno buleetebwa ensowera enzirugavu eranga yeleeta nobulwadde bwokuziba amaaso obwa River Blindliness

Bwabadde ayogerako mu lukungaana lwa bannamawulire olutuula buli wiiki ku ofiisi za National Economic Empowerment Dialogue (NEED) mu Kampala, Kansala w’omuluka gw’e Kiwombe mu kibuga Gulu, Francis Otim agambye nti ekirwadde kino kisse abaana abasoba mu 1800 abali wansi w’emyaka etaano ate abasoba mu 1000 bebabuyana nakyo.

Yagambye nti wadde ekizibu kino kinene gavumenti tekoze kinene kuzuula lwaki obulwadde buno buli mu bukiikakkono bw’eggwanga wokka, ekibuleeta n’engeri gye buyinza okulwanyisibwamu