Amawulire

Abdul Kitata akomezedwawo mu kooti y’amagye.

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Kooti y’amagye   etuula Embuya leero etudde okuwulira emisango egivunanibwa ayali akulira ekiwayi ekya Bodaboda 2010 Abdallah Kitatta nabalala 12  , nga bano bavunibwa emisango okuli egy’obutemu, ko n’okusangibwa n’ebyambalo by’amajje  .

Amakya ga leero munamateeka wa kitata Joseph Kiryowa ko n’aboluganda lwa kitata 5 beebokka abakiriziddwa okuyingira mu kooti eno, bo banamawulire nebaggalirwa ebweru wa gate ya barracks eno.

Omwogezi w’amagye ga UPDF Lt. Colonel Deo Akiiki, agambye nti abavunaanwa bonna baakusigala nga bajja mu kooti eno okutuusa nga basindikiddwa mu kooti enkulu ey’amagye kubanga emisango gyebazza gyanaggomala

Kinajukirwa nti bano okukwatibwa kyadirira ekitongole ekiketera amagye ekya CMI okukola okunonyereza ku bantu abatta eyali omukozi wa case clinic Francis Ekalugar okukakana nga bagude kubano.