Amawulire

Abbye embaata alula

Ali Mivule

June 7th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Ssemaka abbye embaata  nawayiriza amayembe bamukubye mizibu .

Isma Katamba owemyaka 22  nga mutuuze we Kafumu mu Mpigi town council era nga embaata  ya muliraanwa we Rajab Kiyimba ne bamukwata ng’agikwese mu nsiko.

Kigambibwa nti embaata eno yagibbye kiro ewa Muliraanwa we ne bamugoba  n’addukira mu kisiko nagikweka naye nga bamaze okumwetegereza kwe kugenda ne bamuteega mu makaage era olwatuuse ne bamukwata.

Ono alabye bimusobedde oluvannyuma lwokukwatibwa nasalaawo nabatwala gyabadde agikwese ne bagiggyayo ne bamutwala okutuuka ewa ssentebe w’ekintundu amanyiddwa nga Mesach Kintu amutusizza ku Poliisi ye Mpigi

Katamba olutuusiddwa ku poliisi bino byonna abyegaanyi n’agamba nti bamusanze ava kusamira ekiro ne bamuwaayiriza nti abadde ava kukweka mbaata mu nsiko ate nga yagirabye kyokka nga naye tamanyi gye yavudde.

Akulira poliisi ye Mpigi Ronald Mugarura akakasizza obubbi bwa Katamba era n’amuggulako omusango gw’obubbi ku fayiro nnamba 04/06/2017 nga agenda kutwalibwa mu kkooti abitebye oluvanyuma lwokufuna obujanjabi.