Amawulire

Abbira ku mobile money bakaligiddwa.

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Waliwo abantu babiri abagambibwa okubbira sente ku mobile maney abavunaniddwa nebasindikibwa e Luzira.

Ababbiri bano okuli Kyarisima Doreen ow’emyaka 30 nga mutuuze we Kamwokya ne mune Nasuna Ruth naye ow’emyaka 30 nga naye  mutuuze we mutungo bavunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisoka Patrick Talisuna nebakiriza e misango.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lydia Batiibwe lugamba nti bano nebanaabwe abalala abatanakwatibwa wakati wa 13th ne 14th January 2018 e Kamwokya babba emitwalo 80 okuva ku mobile money

Kkooti ekitegedeko nti sente zino zabibwa okuva ku ssimu ya Kasumba Vincent.

Kati bakudizibwa mu kkooti nga May 11th baweebwe ekibonerezo ekibagwanidde oluvanyuma lw’okukiriza emisango.