Amawulire

Abazze Okulamaga Bakyasobeddwa Tebalina Ntambula

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2017

No comments

Bya Moses Ndhaye

Oluvanyuma, lwo’kulamaga olunnaku olwe gulo namungi womuntu bweyeyiye ku biggwa byabajulizi e Namugongo  okujjukira abajjulizi ba Uganda abafirira eddiini yaabwe, abasinga kati bakyasobeddwa.

Kati omusasai waffe atuseeko e Namugongo amakya ga leero, wabula bangi ku balamazi bakyasobeddwa, abamu tebalina ssente za ntambula, ate abalala abaabwe bababuzeeko.

Kuno kwabadde kulamaga kwa mulundi gwa 132, okuva abajjulizi battibwa ssekabaka Mwanga 11.