Amawulire

Abazimba tebagoberera mateeka

Abazimba tebagoberera mateeka

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole ekirondoola emirimu gyokuzimba, National Building Review Board bakaksizza abantu babulijjo nti bebali mu mitambo gyokulungamya emirimu gyokuzimba mu gwanga.

Kino bagambye nti baakwongera okukikola, nga basinziira mu mateeka agafuga ebyokuzimba.

Bano baafulumizza alipoota yaabwe, kungeri abantu gyebagobereramu amateeka mu kuzimba.

Wabula alipoota yalaze nti abantu bazimba tebagoberera mateeka, ngebibalo biri wansi ku 25% mu bibuga 11.

Ssenkulu wekitongole kino Eng. Flavia Bwire agambye nti ebibuga byonna ku mutendera gwa City, Municipality, Town Council and nabakulira emirimu batekeddwa okugoberera etteeka erya Building Control Act 2013.

Mu kunonyereza kuno, bekenneenya ebizimbe 5,642 mu bitundu ebyenjawulo.