Amawulire
Abazigu basse omuwala mu bbaala
Bya Sadat Mbogo
Akasattiro kagudde mu kabuga k’e Buwama mu district y’e Mpigi abazigu abatannategerekeka bwebazinzeeko ebbaala nebatta omu ku bawala abawereeza.
Abatuuze mu kitundu kino bannyonnyodde nti abazigu babadde 2 nga batambulira ku pikipiki n’ekisaawo omugambibwa nti mubaddemu bissi okuli ebyambye, ebiso n’emisumaali.
Bino bibadde ku bbaala ya Good Time Happy Hours Bar, nga basanzeewo abawala 2 nebabasaba amasimu.
Omu ajiwaddeyo n’asimattuka wabula omulala oluganye, abazigu bamulagidde akubire abeewaabwe alaame n’okubabikira nti abadde agenda kufa.
Kati oluvanyuma era basse Justine Nakato, owemyaka 21 bwebamufumise ebiso mu lubuto navaamu omusaayi mungi ekimuviriddeko okufa.
Omulambo poliisi eguggyewo omulambo negutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe okwongera okugwekebejja.