Amawulire

Abazigu basse abakuumi 2 ku ssomero lya Naalya SS Lugazi

Abazigu basse abakuumi 2 ku ssomero lya Naalya SS Lugazi

Ivan Ssenabulya

February 17th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu disitulikiti ye Buikwe etandise okunonyereza kubwa kondo, nobutemu obukoleddwa ku bakuumi 2 ku ssomero lya Naalya SS Lugazi Campus.

Abagenzi kuliko Ezangu Isaac owemyaka 29 ne Mawobe Geoffrey owa 32 nga babadde batuuze ku kyalo Kibubu B, mu Kitega Divizoni ye Kawolo mu munisipaali ye Lugazi.

Ettemu lino libaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero, ngemirambo gyabwe gizuliddwa abakozi mu kiyungu bagisanze mu kitaba kyomusaayi.

Kigambibwa nti abazigu bamenye nebayingira mu ssomero nebabatematema, nebolekera muzi wofiisi era bakuliise nensimbi enkalu ezitanaba kukakasibwa muwendo kompyuta 3, TV nga bonoonye nebatwala ne camera kika kya CCTV.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa Hellen Butoto akakasizza obutemu buno, ngagambye nti baliko omuntu omu gwebakutte Andama Robert owemyaka 32 agenda kubayambako mu kunonyereza okutandise.

Agembye nti emirambo gikumibwa ku gwanika lyeddwaliro e Kawolo gikyekebejebwa.