Amawulire

Abazadde basabiddwa okuyamba abaana babwe

Abazadde basabiddwa okuyamba abaana babwe

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Wofiisi y’omubaka wa gavumenti e Mukono bajjukizza abazadde ku buvunanyizibwa bwabwe obw’okulera, okuteekateeka abaana baveemu abantu ab’obuvunanyizibwa.

Amyuka omubaka wa gavumenti e Mukono Henry Kitambula bino yabitegeezezza abazadde mu kukungaana lw’abafumbo olwabadde ku Kanisa ya Mt Lebanon Christian Centre mu kibuga e Mukono.

Amyuka RDC alaze okutya ku muwendo gwabaana aboononeka mu kunywa ebiragalaragala, okwambala enkunamyo nokwenyigira mu bumenyi bwamateeka, oguli waggulu.

Ono era yanenyeza nabaami abakottoggera bakyala baabwe okukola, ngagambye nti kikulu nnyo nabakyala okukola okwongera ku nnyingiza yamaka.