Amawulire

Abazadde basabiddwa okuwagira abaana babwe

Abazadde basabiddwa okuwagira abaana babwe

Ivan Ssenabulya

August 29th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abaana n’obulamu obulungi bisabye abazadde n’abakwatibwako ensonga okuwa obuwagizi abaana abakyali mu masomero.

Bino okuvaayo byebiti nga ebbula mbale taamu ey’okusatu etandike.

Okusinziira ku minisitule y’ebyenjigiriza, abayizi bonna basuubirwa okudda ku masomero ku Mmande ejja nga 5th September.

Omukwanaganya wémirimu mu kibiina ekirwanirira eddembe lya baana ekya high sound for children Martha Ndagire, agamba nti omutindo gw’abayizi mu ttaamu ey’okusatu kye kisumuluzo mu kusalawo obuwanguzi bwabwe naddala eri abo abalimu bibiina eby’akamalirizo