Amawulire

Abazadde bakusasula ensimbi abaana banywe amata kussomero

Abazadde bakusasula ensimbi abaana banywe amata kussomero

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Minisitule y’ebyenjigiriza etegeezezza nga abazadde bwebagenda okusasula ensimbi okusobozesa abaana babwe okunywa amata ku massomero ng’emu ku ngeri y’okutumbula omutindo gw’abayizi.

Kaminsona w’amasomero g’obwananyini George Muteekanga, agamba nti amasomero gakuteekawo obukiiko obuvunanyizibwa kundya yábayizi era bwebunagereka ebisala abazadde bye balina okusasula abaana babwe basobole okunywa amata ku ssomero.

Ono agambye nti enteekateeka y’okuwa abaana amata yatandikira mu bitundu by’obugwanjuba bw’amaserengeta ga Uganda kati egenda kugezesebwa mu bibuga ebinene ebya Kampala mu taamu eno ey’okusatu.

Akamisona Mutekanga agamba nti enteekateeka eno eyayisibwa minisitule y’ebyenjigiriza egenda kutambuzibwa mu masomero gonna okwetoloola eggwanga omwaka ogujja mu January.

Bino abyogeredde mu kuteesa ku nteekateeka yokuwa abayizi ekikopo kya mata munsisinkano ebaddemu abakulembeze ba gavt ezebitundu.