Amawulire

Abazadde abatayanguwe kuzza baana kumasomero bakwatibwa

Abazadde abatayanguwe kuzza baana kumasomero bakwatibwa

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Buyende, Dison Bwire asabye abaami b’amasaza okutambula mu byalo bakwate abazadde abasangiddwa nga bakuumira abaana babwe awaka ng’olusoma olusooka olwa taamu eno lutandise.

Agamba nti alagidde bassentebe b’amagombolola okukwatagana ne bassentebe b’ebyalo bamuyambeko okukwata abazadde abatafudeeyo ku byókusoma byabaana.

Bwire agamba nti abanakwatibwa bakutwalibwa ku poliisi ne bawalirizibwe okugula ebikozesebwa mu masomero nga kwotadde nókuwa engassi.

anyonyodde nti abazadde tebalina kwekwasa nsonga yonna butatwala baana ku masomero kuba gavumenti yafulumya dda ensimbi z’okusomesa abaana mu masomero ga bonna basome.

Asabye abazadde okutwala obuvunanyizibwa bwabwe nga bagula ebintu ebitonotono ebiytambako okukuumira abaana mu masomero.