Amawulire
Abazadde abagaanye abaana okukola PLE bakwatiddwa
Bya Abubaker Kirunda
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Bugiri, baliko abazdde 2 bebagalidde olwokugaana abayizi baabwe okutuula ebigezo bya P7.
Omlundoozi wamasomero mu disitulikiti ye Bugiri, Prescovia Biryeri agambye nti yeyalagidde okukwatibwa kwabazadde bano, oluvanyuma lwokukitegeerako nti abayizi baabwe tebakoze.
Abakwate batuuze mu ugiri Western Division mu munisipaali ye Bugiri, wabulanga nensonga eyabaganyisizza abaana okukola bigezo tenategerekeka.
Agambye nti okugaana abyizi okukola ebigezo kwabadde kugotaanya entekateeka ya gavumenti.