Amawulire
Abazaala nga batto beyongedde
Bya Ivan Ssenabulya
Akuliira abasawo abazaliisa mu ddwaliro lya Mukono Health Center IV – Alex Namala alaze okutya olwo’muwendo gwa’baana abato wakati we’myaka 10 ne 19 abazaala nga tebanetuuka.
Ono ategezeza nti mu kugeragerannya omwaka 2016 ne 2017, emiwendo gizze girinnya okuva ku baana 1,765 okudda ku baana 1,785 ekyeralkiriza.
Agamba nti abaana bano batto, era bangi tebamayi kyakukolaera nasaba abazadde okwegatta mu lutalo luno.