Amawulire

Abayokeza enyumba ya Nnamukadde poliisi ebawenja

Abayokeza enyumba ya Nnamukadde poliisi ebawenja

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2022

No comments

Bya Malik Fahad,

Poliisi e Masaka etandise omuyiggo gw’okusamba ensiko okuzuula baani abakidde enyumba ya namukadde Ben Kakooza omuliro yonna nesirikka.

Bino bibadde ku kyaalo Kigangazi mu muluka gw’e Ggulama mu gombolola y’e Buwunga mu district y’e Masaka.

Okusinziira ku namukadde Kakooza, bino webibeereddwo, bonna abawaka babadde bagenze mu nimiro.

Nalong Nassaka muka Kakooza ayogeddeko n’omusasi waffe

Nakitto Lule nga Kansala wa kitundu kino kati ayagala abazira kisa okubakwatizaako basobole okuteerawo namukadde ono nebwekiba ekisenge kimu wanasobola okubeera n’abazukkulu.

Yye aduumira Poliisi e Masaka Moses Nanoka agamba nti n’okutuusa kati babadde tebannabaako gwebakwata ku byekuusa ku muliro guno.