Amawulire

Abayizi tebategeera byebasoma

Ali Mivule

April 4th, 2014

No comments

students

Alipoota efulumiziddwa ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga eraze nti abayizi  mu secondary bakyakola bubi amasomo omuli Bilogy, Okubala n’olungereza.

Alipoota eno ey’omwaka 2013 eraze nti abayizi ebitundu 14% bebategera biology, okubala mu senior eyokubiri, ebitundu 40% bebategera okubala ate ebitundu 43 % bebategera oluzungu.

Bwabadde atongoza alipoota eno kulwa minister, avunanyizibwa ku byenjigira ebisokerwako mu masomero ga secondary Yusuf Nsubuga agambye nti bayizi okukola obubi kivudde ku basomesa ba sciences okuba abekekwa,ate nganabamu byebasomesa abayizi tebabitegera bulungi.

Nsubuga era agambye nti n’amasomo ga praticals gakyali kizibu kale nga kino kiviriddeko abayizi okusoma obubi.

Ye ssabawandisi wa Uneb Mathew Bukenya asabye government okukyusa mubyo ebisomesebwa, okuva ku bayizi okuwandiika notice, wabula essira balisse ku masomo ga practicals.