Amawulire

Abayizi beekalakaasa lwa bigezo- omulala azirise

Ali Mivule

October 14th, 2014

No comments

Schs in kla

Abayizi abeekalakaasa bayingiridde ebigezo bya siniya y’okuna ebigenda mu maaso mu disitulikiti ye Lwengo

Abayizi abeekalakaasizza ba ssomero lya Modern High school Mbirizi  ng’eno ebigezo biyimiriziddwa okumala ssaawa nnamba n’omusobyo

Abayizi aba siniya y’okuna beebalumbye banaabwe ababadde bakola ebigezo nga bagamba nti bbo babalese mabbali

Abayizi bagamba nti akulira essomero Najib Ssozi yabalagira okusasula shs omutwaalo gumu buli omu  okutuula ekigezo kya Chemistry, Biology, ne physics kyokka nga baasasula ez’ebigezo

Poliisi ekkakkanya obujagalalo eyitiddwa okukkakkanya abayizi bano

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Noah Sserunjogi agamba nti abayizi 50 beebakwatiddwa nga bali ku poliisi ye Mbirizi.

Yye nnanyini ssomero Andrew Kanyankole agaanye okubaako ne ky’anyega ku nsonga eno

Ate e Buyende, omuyizi abadde mu kigezo azirise n’agwa eri nga yakatuula mu bigezo.

Lydia Nantoba muyizi ku ssomero lya Kidera SS erisangibwa e Buyende

Omwana ono assiddwa ku mabbali n’akolebwaako kyokka nga kiteberezebwa nti okutya ebigezo kwekubireese.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *