Amawulire

Abayizi balemesebwa okugenda ku masomero lwa mugga Kafu kubooga

Abayizi balemesebwa okugenda ku masomero lwa mugga Kafu kubooga

Ivan Ssenabulya

November 7th, 2023

No comments

Bya Nalwooga Juliet,

Abayizi abamu bava mu masomero ga St. Henry’s Katereiga ne Katereiga Parents’ Primary Schools mugombolola ye Buhanika mu disitulikiti y’e Hoima olwaleero bawaliriziddwa okusigala awaka oluvannyuma lw’omugga Kafu okubooga ne gukola amataba.

Omugga Kafu ogukola ng’ensalo wakati wa disitulikiti y’e Hoima ne Kyankwanzi gwabooze lunaku lweggulo oluvannyuma lw’enkuba okutonnya ennyo.

Webwakeeredde leero, amazzi gabadde geeyongedde nga tewali asobola kusala.

Abayizi abaabadde basala omutala gw’e Kafu okugenda okusoma ku ludda lw’e Hoima bonna balemesebwa okugenda mu masomero gaabwe.

Francis Wobusobozi, akulira essomero lya St. Mary Katereiga Primary School wabula agamba nti amataba tegakosezza bayizi bakibiina ekyomusanvu kuba bonna bali mu kisulo.